Psalms 83

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.

1 aAyi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
2 bWuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
3 cBateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
4 dBagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

5 eBasala olukwe n’omwoyo gumu;
beegasse wamu bakulwanyise.
6 fAbantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
7 gGebali ne Amoni, ne Amaleki,
n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
8 hEra ne Asiriya yeegasse nabo,
okuyamba bazzukulu ba Lutti.

9 iBakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
era nga bwe wakola Sisera ne Yabini
Yabini yali kabaka w’Abakanani, ate nga Sisera mutabani we. Yawangulibwa Debola
ku mugga Kisoni,
10 kabaazikiririra mu Endoli
ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 lAbakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,
Olebu ne Zeebu baali bakabaka b’Abamidiyaani, Gidyoni be yawangula

n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 nabaagamba nti, “Ka tutwale
amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

13 oAyi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 pNg’omuliro bwe gwokya ekibira;
n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 qnaawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 rBaswaze nnyo,
balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

17 sBajjule ensonyi n’okutya,
bazikirire nga baswadde nnyo.
18 tBalyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,
gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.
Copyright information for LugEEEE